Amawulire

Akayanja ka Kabaka kanalongoosebwa

Ali Mivule

March 13th, 2015

No comments

Abakubi ba pulaani wano mu ggwanga nebannabwe okuva mu ssemazinga wa Africa batandise enteekateeka z’okukuba pulaani y’okukulakulanya akayanja ka Kabaka wali e Kabuusu. Pulaani eno oluvanyuma yakuwerezebwa eri akakiiko ka Buganda akakola ku byettaka aka Buganda land board nga 11 mu mwezi gwa August mu […]

Enongosereza mu kulonda ziruddewo

Ali Mivule

March 13th, 2015

No comments

Abalafubanira okulonda okwamazima ssibasanyufu n’engeri y’akasoobo enongosereza mu mateeka g’eby’okulonda gyezikwatiddwamu. Bano balaze obwenyamivu bwabwe mu nsisinkano gyebabaddemu n’amyuka sipiika wa palamenti Jacob Oulanya gyebamukwasizza kkopi z’ebiwandiiko ebirimu endowooza za bannansi ku kulonda okwamazima. Amyuka ssentebe w’ekibinja kino  nga era ye ssenkagale w’ekibiina kya DP […]

Aba DP bakukyuusa mu ssemateeka

Ali Mivule

March 13th, 2015

No comments

Ekibiina ky’eby’obufuzi ekya  Democratic Party kyagala kukyusa mu ssemateeka kino okulaba nga begatta n’ebibiina ebirala okusimbawo omuntu omu mu kulonda kw’omukulembeze w’eggwanga mu 2016. Kino kyakukolebwa mu lukiiko lw’ekibiina kino olwokuntikko olugenda okubeera e Masaka olunaku olwenkya. Ekibiina kino era kyakutunula mu nsonga y’okwawula ssenkagale […]

Abalamuzi tebawuuse nguzi woowe

Ali Mivule

March 13th, 2015

No comments

Abalamuzi bazze na nkuba mpya mu kulya enguzi Kizuliddwa nga abalamuzi kati ensimbi z’enguzi bwebazifunira ku massimu gaabwe nga bayita mu nkola ya Mobile Money.   Bino bifulumidde mu alipoota ekoleddwa ekibiina ekirwanyisa obuli bw’enguzi ekya  anti-corruption coalition Uganda nga kino abalamuzi bakilola obutabalondoola nga […]

Palamenti egonze ku bannamawulire

Ali Mivule

March 12th, 2015

No comments

Amyuka sipiika wa palamenti omukulu Jacob Oulanya asazizzaamu ekiragiro ekyayisiddwa nti bannamawulire abamaze emyaka etaano mu palamenti bagobweeyo Bino byabadde mu bbaluwa eyassiddwaako omukono gw’omuwandiisi wa palamenti Jane Kibirige nti eno y’engeri yokka ey’okumalawo obwa kyekubiira Bw’abadde ayogerera mu palamenti, Oulanya agambye nti ensonga eno […]

Amazaalibwa g’omutanda- abalala bayambyeeko

Ali Mivule

March 12th, 2015

No comments

Aba Kampuni etegeka ebivulu eya Events Warehouse ewaddeyo Cheeke  ya bukadde 35 ku kudduukirira emisinde gy’amazaalibwa ga Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ag’emyaka 60 egy’obuto. Emisinde gino gyakubeerawo omwezi ogujja, okutandikira ku lubiri e Mengo, era nga Tikiti zitundibwa okuva mu bifo ebyenjawulo […]

Ekiriiro kya UCHUMI kiggaddwa- Bujama

Ali Mivule

March 12th, 2015

No comments

Ekitongole kya Kampala capital city authority kiggaddewo ekifo awaliirwa Uchumi supermarker esangibwa ku Garden City Obuzibu bwonna buvudde ku bujama Ekifo ekiggaddwa wewali ebiyungu n’awaliirwa emmere Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agambye nti aba UCHUMI babawadde ebbaluwa ezibalabula naye nga tebenyeenya kwekusalawo okubaggala Bbo […]

Museveni etenderezza poliisi

Ali Mivule

March 12th, 2015

No comments

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni awanye ekitongole kya poliisi olw’obukugu bwekyolesa ensangi zino. Bino pulezidenti y’abyogeredde ku mukolo gw’okufulumya abaserikale ba poliisi abamaze emyezi 10 nga batendekebwa ku ttendekero lya poliisi era Kablye mu disitulikiti ye Masindi. Museveni agamba nti kati poliisi esobola okukola ku misango […]

Abalwanirira eddembe ly’abakyala batabuse ku Rwakihembo

Ali Mivule

March 12th, 2015

No comments

Abalwanirira eddembe ly’abakyala bavumiridde ekya kkooti y’amagye okuyimbula omujaasi Lance Corporal Herbert Rwakihembo. Ono y’ali asibiddwa emyaka 30 olw’okukuba abantu 3 amasasi n’abatta okwali ne mukyala we Irene Kawendeke wabula oluvanyuma neyejerezebwa mu kkooti y’amagye ejulirwamu nga era kati alya butaala. Abakyala okuba mu bibiina […]

Ttiyagaasi e Makerere- abayizi beekalakaasizza

Ali Mivule

March 12th, 2015

No comments

Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu bayizi b’emakerere abali mu kwekalakaasa nga bawakanya eky’okusasula fiizi zonna mu ssabbiiti 6 ezisooka. Abayizi olwekandazze nebalumba ebitundu bye Wandegeya nga eno poliisi tebaganyizza kutataganya basuubuzi n’ebakubamu omukka ogubalagala.