Amawulire
abaatega bbomu bakomyeewo mu kkooti
Okuwulira emisango gy’obutujju omwafiira abantu abasoba mu 70 nga 11th July 2010 kutandise mu kkooti enkulu. Mahmood Mugisha y’asoose mu kaguli nga ono ye emisango y’agikiriza era ali ku kibonerezo kya myaka 5 mu kkomera. Abavunaanwa bali mu maaso g’omulamuzi Owiny Dollo. Ku bano kuliko […]
Omukozi afiiridde ku mulimu
Entiisa ebutikidde abakozi wa kampuni y’abakyayina ezimba enguudo z’eggaali y’omukka eya Chinese Railways Constructions Engineering Group oluvanyuma lwomu ku munaabwe okufiira ku mulimu. Peter Nabothi nga abadde muvuzi wakiloole afudde oluvanyuma lwakiloole ky’abadde avuga okumulemererwa n’agwa mu mugga Katonga nga guno gwawula disitulikiti ye Mpigi […]
Okulonda e Bugiri kutambudde bulungi
W’owulirira bino nga okulonda kwa ssentebe wa disitulikiti ye Bugiri kugenda mu maaso. Abesimbyewo kuliko munna NRM Hajji Siraje Byavala , owa FDC Luba Bumaali, n’abesimbyewo kulwabwe alangalira Mwamadi, Simon Funa n’eyali omubaka wa Bukooli Abdu Nakendo. Ekifo kino kyasigala kikalu oluvanyuma lw’eyali ssentebe Marijani […]
Atemyeeko omwana ono omutwe naye bamusse
Omusajja eyatemyeeko omuwala w’emyaka 12 omutwe azindukiriziddwa abatuuze nebamutta mu bitundu bye Kiboga. Geoffrey Mubega atiddwa ku kyalo Buninga mu gombolola ye Rwamata oluvanyuma lw’abatuuze okumusanga n’ekiveera omubadde omutwe gw’omugenzi. Omugenzi y’ategerekese nga Jayirisi Niwemurungyi muwala wa Patrick Byanywana ne Merabu Kyankazi, ku kyalo Rwomuriro […]
Poliisi positi zakujjibwaawo
Poliisi yewozezzako ku kyokujjawo poliisi positi eteekewo obuyumba obutali bwankalakalira . Ssabapoliisi w’eggwanga y’ategezezza nga kino bwekyetagisa kubanga abaserikale balina batono sso nga n’enguzi esusse ku bu poliisi positi. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba kino wabula ssi kyakukosa poliisi positi ezazimbibwa edda […]
Akabenje akalala kasse 2
Abantu abalala 2 bafiiridde mu kabenje akagudde wali e Villa ku nkulungo y’oluguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara. Kino kyekifo kyekimu ewafiira abantu 5 mu kabenje akaabaddewo ku ntandikwa ya wiiki eno. Akabenje kano kavudde ku baasi ya kampuni ya Global Coaches […]
abasoba mu 600 babbira
Ekitongole kya Poliisi yokumazzi kitegezezza nga abantu abasoba mu 600 bebabbira mu bubenje mu mazzi mu myaka 4 egiyise. Ebizuliddwa biraga nga 658 bwebaafa wakati wa January 2010 ne December 2014 nga abasinga bafiira mu lyato eryagwa mu mazzi e Ggaba neritta abasoba mu 200. […]
Okusunsula mu baalondebwa kuwedde- ssabalamuzi awera
Okusunsula abalondebwa ku bwa Minista kufundikiddwa. Muno mwemubadde ne ssabalamuzi omuggya Bart Katureebe kko n’omumyuka we Steven Kavuma Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okuyita mu kakiiko akasunsula abalondeddwa omukulembeze w’eggwanga, Katureebe agambye nti wakuyimirira nga yetongodde era ng’obwenkanya kw’ajja okutambuliza ensonga Ono era asaabuludde abantu byebabadde […]
Namungi w’omuntu akungubaze- kawefube w’okumaliriza enyumba ya AK atandise
Namungi w’omuntu akyagumbye e Seguku okukungubagira abadde omuyimbi Salongo Emmanuel Mayanja amanyiddwa nga AK47. Okusaba okukulembeddwamu Father John Vianne Mugabo asabye abavubuka mu ggwanga okutya mukama wamu n’okukola enyo. Yye mukulu w’omugenzi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Chameleon akubagizza abakungubazi n’asaba Baganda be okwagalana. Ku lwabakozi […]
Munaana battiddwa abakwatamundu
Abantu munaana beebattiddwa abakwata mundu bwebalumbye ekifo ky’obulambuzi mu kibuga kya Tunisia ekikulu Tunis Mu bafudde, musanvu balambuzi ate omu munnansi wa Tunisia Bino bibadde ku kifo ky’obulambuzi ekimanyiddwa nga Bardo ekiriraanye ekizimbe kya palamenti Mu kaseera obulumbaganyi buno webubeereddewo, ng’ababaka mu palamenti bagenda mu […]