Amawulire

Okutyoboola eddembe ly’abantu kukendedde

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Emisango gy’okutyoboola eddembe ly’obuntu gikendedde mu ggwanga. Kino kyeyolekedde mu  alipooota  efulumiziddwa akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga  nga era eraze nga emisango gino bwegyakendeera omwaka oguwedde nga gyali 3,904 bwogerageranya ku 4753 egyaliyo mu 2013. Emisango egisingamu okulinyirira eddembe ly’obuntu kuliko okutulugunya,okulagajjalira abaana, ssaako […]

abayisiraamu bagumbye ku kkooti

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Waliwo ekibinja ky’abayisiraamu abagumbye wabweru wa kkooti ye kololo ewavunanibwa banaabwe abaakwatibwa olw’abakulembeze b’abayisiraamu abazze batibwa. Kino kiddiridde abasiraamu nga bakulembeddwamu  Sheikh Yunus Kamoga okusaba kkooti ebalage sitetimenti ku misango egibavunanibwa ssaako n’obutambi bw’obujulizi ku misango gino. Nga bayita mu munnamateeka waabwe  Fred Muwema,abasiraamu bano […]

Akabenje kasse basatu e Iganga

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Poliisi etandise okunonyeraza ku kabenje omwafiiridde abantu 3 akawungeezi akayise wali e Iganga. Akabenje kano kaagudde kumpi n’omugga gwe   Nakalama oluvanyuma lwa taxi eyabadde edda e Busia okulemerera omugoba waayo n’ekuba akafunvu neyevulungula enfunda eziwera. Akulira poliisi y’ebidduka e Iganga  William Bariyo agamba akabenje kano […]

Omuvubi abbidde

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Mu disitulikiti ye Buyende,waliwo omuvubi ow’emyaka 80 agudde mu Nyanja n’afa.   Musana Kwagala  omutuuze ku mwalo gwe  Iyingo  y’abidde nga agenze okukima obutimba obumenya amateeka bweyabadde akweese okuva eri ababukwata .   Eryato kw’abadde ayambulira liyuuze nerigwa mu mazzi.   Akulira eby’obuvubi mu disitulikiti […]

Omusajja gwa Typhoid gutuuse e Maracha

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Omusujja gwa Typhoid gwongedde okusasanira mu bitundu by’eggwanga ebirala. Abantu nga  311 bateberezebwa okubeera n’omusujja guno mu disitulikiti ye  Maracha . Akulira okulambula eby’obulamu mu disitulikiti eno  Rasul Jurua agamba omusujja gubakutte mu myezi 3 egiyise nga era batandise okwekenenya abatunzi b’emmere mu kutundu kino. […]

Ssewanyana ayimbudde

Ali Mivule

March 23rd, 2015

No comments

Kyaddaaki kansala w’egombolola ye Makindye  Allan Ssewanyana ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka mitwalo 80 Abamweyimiridde 5 buli omu abadde wakakadde kamu ezitali zabuliwo. Ku lunaku olwokutaano ssewanyana y’agulwako omusango gw’okwogera kalebule ku kampuni ya betting eya Top Bet  nga bwebabba bakasitoma baayo wamu n’obutasasula […]

Eyatta omwana ku KCCA ajjiddwaako emisango

Ali Mivule

March 23rd, 2015

No comments

Ssabawaabi wa gavumenti ejjeyo emisango egibadde givunanibwa dereva wa KCCA eyadda emabega n’afotola omwana ow’emyaka ebiri n’ekitundu wali ku ofiisi za KCCA ku City hall. Ku ntandikwa y’omwaka guno KCCA y’aliyirira bazadde b’omwana ono n’obukadde 50 nga era maama w’omwana Madinah Namutebi  y’akola sitetimenti endala […]

Abavubuka bakwatiddwa

Ali Mivule

March 23rd, 2015

No comments

Waliwo abavubuka  12 abakwatiddwa lwakwetaba mu misinde egyawereddwa poliisi. Bano bebamu ku begattira mu kibiina kyabwe eky’abavubuka abaavu nga babadde bategese emisinde egy’okutolontoka mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo. Bano bayooleddwa okuva mu bitundu bya Wandegeya ne kabalagala . Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick […]

Katikkiro ayanukudde Muzaaata- Jjawo akajanja

Ali Mivule

March 23rd, 2015

No comments

Katikkiro wa Buganda  Charles Peter Mayiga asekeredde abatandise okuseketerera enkola y’okusonda ettofaali nga era ssi wakupondooka olw’ebigambo by’abantu . Kamala byonna aweze nga bwagenda okutwala maaso enteekateeka eno ekizimbe kya Masengere nebwekinaaba kiwedde okukwasibwa ssabasajja ku mazalibwa ge nga 13 omwezi ogujja. Bino Katikiro abyogeredde […]

Akabenje kalumizza mukaaga

Ali Mivule

March 23rd, 2015

No comments

Abantu 6 bakutuse emikono n’amagulu oluvanyuma lw’akabenje akagudde ku kyalo Nabbuzi e kamengo Akabenje kano kavudde ku takisi namba UAP 556 S ebadde egezaako okutaasa owa Bodaboda ayingidde oluguudo neyerindiggula ennume y’ekigwo neyefuula enfunda eziwerako. Takisi eno ebadde eva Kampala nga eyolekera Masaka. Aduumira poliisi […]