Amawulire
Ssabalamuzi alabudde bannamateeka
Ssabalamuzi w’eggwanga Bart Katureebe alabudde bannamateeka ku kunyunyunta abantu bebaweereza nga bagaala okugaggawala mu bwangu Katureebe agamba nti bannamateeka abamu batuuka n’okusaba emisango gyongerweeyo n’ekigendererwa ky’okwongeza mu nsimbi zebasaba Omukulu ono abadde ayogerera ku Lukiiko olutegekeddwa ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority n’ekibiina ekitaba bannamateeka […]
Makerere terina Kamera
Ssabaduumizi wa poliisi gen Kale Kaihura olwaleero akyaddeko ku ttendekero lye Makerere okulaba ebintu nga bwebitambula era nekizuulibwa nti ettendekero lino teririna kamera za CCTV. Gen Kaihura agamba nti okubulawo kwa kamera zino kussaawo obuzibu obwamaanyi n’awa eky’okulabirako ky’obulumbaganyi obwaali e Kenya ku yunivasite ye […]
Abagambibwa okuba abatujju bakwatiddwa
Wabaddewo akasambattuko ku luguudo olugata kasese ku Fortportal, police bwezinzeeko oluguudo okukwata emmotoka abadde eteberezebwa okubaamu bomu. Bino bibadde ku lutindo lwe Nyakasanga , era nga eno muno mu motoka poliisi ekukunuddemu abantu 4 abagambibwa okubeera abatujju nebatwala ku poliisi ye Kasese wakati mu bukuumi […]
Enkulungo ya Nantawetwa akwasiddwa obwakabaka
Nga ebula ennaku 3 okutuuka ku mazaalibwa ga ssabasajja,ab’ekitongole kya KCCA baguddewo enkulungo ya Nantawetwa esangibwa wali ku luguudo lwa Kabaka Njagala oluvanyuma lw’okuyooyotebwa. Enkulungo eno eyitibwamu ssabasajja kabaka yekka Akulira emirimu mu KCCA Jennifer Musisi agamba enkulungo eno esasanyiziddwako obuwumbi obusoba mu 3 kyaali […]
Abigenda mu maaso mu kkooti byakukwatibwa ku butambi
Essiga eddamuzi lyakutandika okukwata ebigenda mu maaso mu kuwoza emisango ku butambi. Kino kibukuddwa ssabalamuzi w’eggwanga omujja Bart Katureebe n’ategeeza nga bwekijja okuyamba okwekenenya ebikwata ku misango egitali gimu nga era kwakwanguyiza abalamuzi emirimu gyabwe. Katureebe agamba eno yemu ku nteekateeka z’okulaba nga […]
Bannayuganda batubiridde mu Abudhabi
Gavumenti esabiddwa okunonyereza ku bannayuganda 27 abagambibwa okuba nga baggaliddwa mu ggwanga lya Abu Dhabi Kiddiridde ensonga eno okuleetebwa omubaka we Rubaga mu bukiikaddyo John ken Lukyamuzi ng’agamba nto bano bakwatibwa poliisi yaayo era ng’omu ku bbo yafudde olw’endya embu Mu kwanukuula, ssabaminisita Dr Ruhakana […]
Abavunaanibwa obutujju bagenze mu kkooti enkulu
Abaakwatibwa ku musango gw’obutujju okuva wano mu Kisenyi basindikiddwa mu kkooti enkulu bavunaanibwe. Empapula ezongerayo bano mu kkooti enkulu ziweereddwayo omuwaabi wa gavumenti Esther Narungi. Okusinziira ku ssabawaabi wa gavumenti , baakuleeta obujulizi obulaga nti bano baali boogerageranya n’abakambwe ba Al shabab nga era baali […]
Mubonereze ababaka abatatuula mu palamenti
Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga basabye omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu okukangavvula ababaka ba palamenti abebulankanya entakera mu ntuula za palamenti. Akulira ekibiina kya Anti Corruption Coalition Uganda Cissy Kagaba agamba ababaka bano basasulwa omusimbi mungi kale nga basaana okuweereza eggwanga awatali kwebulankanya. Ono aweze nga […]
Abavuganya bakungubagidde munnamateeka Murumba
Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye atenderezza nyo omugenzi Wilfred Murumba nga ono y’abadde munnamateeka w’ekibiina kya FDC nga omuntu alwaniridde enyo obwenkanya. Mu kusabira omwoyo gw’omugenzi ku ekeleziya ya Christ the king amakya galeero, Besigye ategezezza nga omugenzi Murumba bw;abadde ayimirira wo […]
Ensonga z’abasawo okukuba ekyeyo zituuse mu palamenti
Sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga alaze okwenyamira olwa gavumenti okulemererwa okunyonyola lwaki yesibiridde okuwereeza abasawo ebweru w’eggwanga okukuba ekyeyo Kadaga agamba nti bawandiikira dda minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga okubanyonyola ekigenda mu maaso kyokka nga kati guyise ne mu mwezi nga tebalabikako […]