Amawulire
Omusawo omufere ayimbuddwa
Omulamuzi omukulu mu kkooti e Soroti ayimbudde omusawo w’ekikwangala eyakuba omukyala empiso y’omusujja n’asanyalala. Justine Elangot alagiddwa okusasula emitwaoa 50 egy’obuliwo ate abamweyimiridde nebalagirwa okusasula obukadde butaano ebitali za buliwo Elangot abadde mu kkomera e Soroti nga yakwatibwa omwezi oguwedde oluvanyuma lw’okukuba Janet Aiano empiso […]
Kujjukira abaafira mu Japan
Mu ggwanga lya Japan abaayo bali mu kujjukira nga bwegiweze emyaka 70 bukyanga lutalo lwa Okinawa luggwa omwafiira emitwalo n’emitwalo gy’abantu. Enkumi n’enkumi z’abakungubazai bakunganidde ku kijjukizo mu kibuga kye Itoman nga wano abasinga webattibwa. Katikiro w’eggwanga lino Shinzo Abe naye talutumidde mwana. Abajaasi […]
Abalimi ba taaba baddukidde mu palamenti
Abalimi ba taaba okuva Bugangaizi mu disitulikiti ye Kibale bakwanze omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga ekiwandiiko nga bemulugunya ku kulwawo okusasulwa. Abalimi bano wansi w’ekibiina kyabwe ekya Kakumiro farmers Association balumiriza kampuni ya continental tobacco Uganda Ltd okubakandaliriza okubasasula nga bajiwadde taaba waabwe nga tebafunanga […]
Pulezidenti Museveni avuluze ekibiina kya NRM- abatalina mirimu
Abavubuka b’ekibiina kya NRM abeyita abaavu babakanye nekawefube w’okukunganya emikono egy’okukangavvula ssentebe w’ekibiina kyabwe. Bamusaayi muto bano balumiriza pulezidenti Museveni nti emirimu gimulemye,nga atonzeewo n’obukundi mu kibiina kyabwe. Nga bakulembeddwamu omukwanaganya waabwe Hussein Kato, abavubuka bano bategezezza nga pulezidenti Museveni bweyalemererwa okuwa embalirira ku […]
Kkampuni ezikukusa abantu ziggaddwa- Eya Stecia yeemu ku zzo
Kkampuni nnya ezibadde zitwaala abantu ebweru ziggaddwa ne layisinsi zaazo nezisazibwamu lwakutunda bantu gyebabatutte okubafunira emirimu nebakola nga abaddu Mu zino kuliko ey’omuyimbi Stecia Mayanja emanyiddwa nga Spema Uganda international limited. Endala kuliko Migro opportunity limited, Oasis external employment agency, ne Al-salaam logistics consultancy. […]
Aba DP bakubaganye engumi
Enguumi enyokedde ku kitebe ky’ekibiina kya DP oluvanyuma lw’ekibinja ky’abavubuka okulumba nga bawakanya obukulembeze obwayise ttabamiruka w’ekibiina kino. Ekibinja kino kyonoonye ebintu ebiwerako nga baasizza n’endabirwamu z’ekizimbe era mu kavuvungano, basatu balumiziddwa nebaddusibwa mu ddwaliro Bano era kigambibwa okuba nga bakuulise n’ebisumuluzo bya woofisi wa […]
Olwatika mu lusozi Elgon lusattiza abakulembeze
Poliisi ye Mukono eriko omusajja ow’emyaka 44 gwekutte lwakusobya ku muwalawe ow’emyezi 5 n’aleka nga amunuubudde mu bitundu bye eby’ekyama. Omukwate ategerekese nga Paul Okwale nga era mutuuze mu gombolola ye Mpatta e Mukono. Kagwensonyi ono okukakkana ku bujje lino mukyalawe Contress Achagi y’abadde […]
Taata akutte bebi wa myezi 5
Poliisi ye Mukono eriko omusajja ow’emyaka 44 gwekutte lwakusobya ku muwalawe ow’emyezi 5 n’aleka nga amunuubudde mu bitundu bye eby’ekyama. Omukwate ategerekese nga Paul Okwale nga era mutuuze mu gombolola ye Mpatta e Mukono. Kagwensonyi ono okukakkana ku bujje lino mukyalawe Contress Achagi y’abadde tali […]
TTabamiruka wa DP ali mu lusuubo
Waliwo ekibinja ky’abakungu b’ekibiina kya DP e Masaka abaweze okuzira ttabamiruka w’ekibiina lwamivuyo egyetobeka mu kulonda abakulembeze b’ekibiina ku mitendera egyawansi. Abakungu b’ekibiina kino bemulugunya nti enfunda eziwerako bazze basaba okulonda kw’e Masaka kuddibwemu wabula nga bekikwatako tebafuddeyo ku nsonga zaabwe. Omu ku bano omubaka […]
Sejusa aweze obutasirika
Eyali omukwanaganya w’ebitongole ebikessi mu ggwanga Gen. David Sejusa aweze obutapondooka ku njiri y’enkyukakyuka mu ggwanga. Sejusa okwogera bino y’abadde ayimiriddeko mu katawuni ke Kyabi weyategerezza nga gavumenti eriko kati bweri enkoowu kale nga bannayuganda basaana okugiggyako nga bayita mu kulonda. Gen.Sejusa era y’alabudde omukulembeze […]