Amawulire
Akafuba keyongedde mu bavubuka
Waliwo obweralikirivu ebiro bino mu basawo olw’ekirwadde ky’akafuba okubanga kyeyongera buli kadde naddala mu baana abali wansi w’emyaka 15 olw’obujanjabi obwegasa obutatuuka mu byalo. Abasawo abakugu mu kitongole kya International Union Against Tuberculosis and Lung Diseases abaludde nga bakola okunonyereza ku birwadde ebisinze okutta abaana […]
Amyuka omukulembeze w’eggwanga adduse
Omu ku bamyuka b’omukulembeze w’eggwanga lya Burundi adduse mu ggwanga oluvanyuma lw’okutegeeza nga bw’atawagira pulezidenti Pierre Nkurunziza kwesimbawo kisanja kyakusatu. Eggwanga lya Burundi lyagwamu akasambattuka emyezi egiyise oluvanyuma lwa Nkurunziza okulangirira nga bw’agenda okwesimbawo ku kisanja eky’okusatu. Gervais Rufyikiri ategezezza nga bw’atayinza kubeera kubamu kwabo […]
KKooti egobwe okusaba kw’agambibwa okutega bbomu
KKooti esazeewo nti omu ku bagambibwa okutega bbomu mu mwaka 2010 yakkiriza emisango gino nga tewali amukase Omulamuzi wa kkooti enkulu eri mu mitambo gy’omusango guno Alfonse Owiny Dollo era alagidde nti sitatimenti eno essibweeyo ng’obujulizi obwaleteddwa ab’oludda oluwaabi Sitatimenti eyogerwako yakolebwa Issa Luyima kyokka […]
Okulonda kw’ebyaalo kwakusimba mu mugongo
Gavumenti etegezezza nga ekya palamenti okuyisa enongosereza mu bbago ly’etteeka lya gavumenti ez’ebitundu bwekwabadde okusalawo okutuufu. Akawungeezi akayise palamenti y’ayisizza etteeka lino nga kati abantu bakusimba mu migongo gy’abanatu bebawagira mu kulonda kwabassentebe b’ebyalo, abakulira abakyala, n’ababalema ku byalo. Minisita wa gavumenti ez’ebitundu Adolf Mwesigye […]
Abasomesa basibiddwa emyaka 2
Abasomesa abasingisiddwa omusango gw’okulagajalira omwana n’agwa mu kidiba ky’essomero n’afa basibiddwa emyaka 2. Deborah Akado ne Florence Awori nga bano baali basomesa ku ssomero lya Acorn international school e Bukoto olunaku olweggulo omusango gw’okulagajalira Sunshine Baraza n’abbira mu kidiba ekimanyiddwa nga swimming pool nga 3rd […]
Bannakyeewa bavuddeyo ku Mbabazi
Oluvanyuma lwa poliisi okugaana eyali ssabaminista Amama Mbabazi okwebuuza ku bantu nga bweyasaba n’akakiiko k’ebyokulonda nako nekamugamba asooke kukwatagana na kibiina kye ekya NRM, bannakyeewa bakitadde ku mateeka manafu. Olunaku lweggulo poliisi y’aweze obutakkiriza Mbabazi kugenda eri bantu kubanga ekibiina kya ekya NRM kyamweganye kale […]
Abadde atoloka akwatiddwa
Poliisi ye Kamuli eriko omusajja ali ku gwokusobya ku muwala gwezzemu okukwata nga agezaako okutoloka. Collins Banaabe nga muyizi wa sinita eyokutaano ku ssomero lya St John Kagoma akwatiddwa bw’abadde egezaako okubombo nga abakwate batwalibwa okunaaba. Akulira okunonyereza ku misango ku poliisi ye Kamuli Pamela […]
Abagwira basusse mu Uganda
Minisitule y’ensonga zomunda w’eggwanga eraze obweralikirivu olwabagwiira abayongera okwesogga Uganda mu bumenyi bw’amateeka. Omwaka oguyise gwokka abagwiira abasoba mu 1000 okusinga okuva e china, Pakistan ne India besogga eggwanga mu bukyamu nga era abamu baasobola okukwatibwa nebabazza ewaabwe. Amyuka omwogezi wa minisitule eno […]
Prof Bukenya avudde mu NRM
Eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya kyaddaaki alagiridde mu butongole nga bw’avudde mu kibiina kya NRM. Bukenya agamba nti kati wakutandikawo ekibiina kye ekya Party for national union. Bukenya okuvaayo bw’ati abadde ayogerako nebannamawulire oluvanyuma lw’olukungaana lw’abavuganya gavumenti olutudde wali e Ntinda. Bukenya agamba […]
Akamyu kawangudde omusota
Abazigera baabiraba nti ekyekango tekimanya muzira Wabaddewo ekigwo ekisudde n’emiti, akamyu bwekagwiridde omusota negagufuuwa lwakulumba baana baako Omusota guno gusoose kwezinga bumyu obuto nga gumaliridde okubutta. Wabula akamyu akakulu kabuuse eri nekalumba omusota era omusota negwebulula mpola negudduka