Amawulire

Bakubye ababbi nebattako omu

Ali Mivule

June 27th, 2015

No comments

Abatuuze mu kibuga  kye Wobulenzi mu disitulikiti ye Luweero bavudde mu mbeera nebakkakkana ku bavubuka 4 bebabakuba emiggo nga babatebereza okubba ebyuuma bya sola. Omu ku bavubuka bano ategerekese nga Kisutu ye attiddwa abatuuze, ate abalala 3 okuli John Wasswa Ivan Ssekyanda ne Joseph Jingo  […]

Abakazi mu Japan bagezze amabeere

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

Mu ggwanga lya Japan , abakyala bongedde okugejja amabeere n’obuleega obutono teri agula Abatunda obuleega bagamba nti ennaku zino obuleega bwebasuubula bubadibako yadde nga luli obutono bwebubadde butunda Aba japan beebabadde basinza obuleega obutono .  

Kampala wakugaziyibwa

Kampala wakugaziyibwa

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

Ab’ekitongole kya Kampala Capital City Authority bakutongoza enkola ekwata ku byobuzimbi nemirimu mu kibuga. Minisita wa kampala Frank Tumwebaze agamba nti baluddewo okuleeta enkola eno olw’ensimbi kyokka nga omwezi ogujja ebintu bijja kuba mulaala Tumwebazei agambye nti ng’enkola eno ewedde, kampala ajja kuba agaziyizibwa okutwaliramu […]

Omulabirizi we Lugazi atandise okulambula

Omulabirizi we Lugazi atandise okulambula

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

Omulabirizi we ssaza lye Lugazi omugya Bishop Christopher Kakooza owaleero atandise okulambula essaza n’emirimu egy’enjawulo egikolebwa. Atandikidde ku ddwaliro lya gavumenti erya Mukono Health Centre 4 ng’ali wamu n’abawereza ba ekereziya, atuuseeko ku kitebe kya Munisipaali ye Mukono, ku disitulikiti n’awalala. Ku mbuga ye ssaza […]

Abatta omutunzi wa Waragi basibiddwa emyaka 25

Abatta omutunzi wa Waragi basibiddwa emyaka 25

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

Kkooti ejulirwaamu eremezzaawo ekibonerezo ky’emyaka 25 egyaweebwa abasajja 2 abatta omutunzi wa Waragi mu mwaka gwa 2009. Abalamuzi ba kkooti ejulirwamaua basatu nga bakulembeddwamu Remmy Kasule bagambye nti tebajja kusazaamu nsala y’omulamuzi Andrew Bashaija eyabasiba emyaka 25 Bagambye nti bazzeemu nebekeneenya obujuliz obwaleetebwa nga mu […]

Abe Mulago bafunye kamera

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

Eddwaliro lye Mulago lifunye kamera ezimanyiddwa nga CCTV 11 nga zakussibwa mu waadi y’abakyala abazadde Kino kyakuyamba okukendeeza omuze gw’okubba abaana ogweyongedde mu ddwaliro lino. Kkampuni y’aba china eta ZTE y’egenda okussamu kkamera zino Kamera zino ziwereddwaayo sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga agambye nti […]

Akakiiko akalondesa keefulidde Mbabazi- tetukuwanga ku lukusa

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

Buli lukya okusika omuguwa kweyongera ku ky’eyali ssabaminisita John Patrick Amama Mbabazi okwesimbawo ku bukulembeze w’eggwanga. Kati akulira akakiiko k’eby’okulonda Eng. Badru Kiggundu agambye nti tawangaka lukusa Mbabazi okugenda okwebuuza ku bantu. Bw’abadde ayogerera mu lukiiko lw’ebibiina by’ebyobufuzi ebyenjawulo e Hoima, Kiggundu agambye nti ebbaluwa […]

Top TV ne Leediyo biggaddwa

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

Ekitongole ky’emisolo ekya Uganda Revenue Authority  kigadde Top Radio ne Top TV lwabutasasula misolo. Bano bagaddwa oluvanyuma lw’okulemererwa okusasula ensimbi  obukadde 200. Akulira okukunganya amabanja mu kitongole kino Abdul Salam Waiswa agambye nti bamaze ebbanga ng’alabula abakulira TV ne leediyo  okusasula emisolo gino naye nga […]

Bbomu zisse basatu mu Somalia

Bbomu zisse basatu mu Somalia

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

Mu ggwanga lya Somalia abantu abali eyo mu 30 bebafudde oluvanyuma lwabamukwata mmundu okulumba ekitebe ky;amagye g’omukago gwa Africa mu bukiika ddyo bw’eggwanga lino. Lumira mwoyo avuze emmotoka n’agiyingiza ku wankaaki w’ekitebe kino mu kitundu kye Leego mu kibuga ekikulu ekya Mogadishu.   Abakwambwe ba […]

Omubaka bamugaanye okwogera

Omubaka bamugaanye okwogera

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

Abakungubazi bagaanye omubaka omukyala owa disitulikiti ye Mukono Peace Kusaasira Mubiru okwogerera ku lumbe nga bamulumiriza obutabakikirira bulungi. Bakombye kw’erima nga bagamba azze gyebali lwa kalulu akasembedde ssonga ebbanga lyonna talabikako mu bantu nebwebaba mu buzibu, atenga nemu palament tebamuwulira nti alina kyayogedde. Bino bibadde […]