Amawulire

Omukazi omulala atiddwa e Nansana

Ali Mivule

July 17th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Poliisi mu Kampala ekyanonyereza ku ttemu erikutte wansi ne waggulu mu municipaali ye Nansana nga waliwo omukazi omulala atiddwa mu bukambwe olwaleero. Ono okutibwa nga poliisi ekyanonyereza ku balala 4 abatibwa mu kitundu kino ku ntandikwa y’omwaka guno. Omwogezi wa poliisi mu […]

Omusaabaze bamugyemu amannyo lwabutasasula 3000

Ali Mivule

July 17th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Kondakita akubye omusaabaze  n’amuwangulamu amanyo lwa 3000. Kondakita wa takisi nnamba UAT 156B nga ye  Ibra Matovu okutabuka kiddiridde okutwala omusaabaze okuva e Luweero okutuuka e Kawanda kyokka bwe yamusabye ssente ze 3,000/- ze yatambulidde n’adda mu kwebuzaabuza.. Olwafulumye mu takisi n’ateekako […]

Eyatomeddwa emmotoka ya KCCA alaajanye

Ali Mivule

July 17th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Omusubuuzi atomedwa emotooka ya KCCA alaajanye bamuddukirire. Sarah Namayanja  owemyaka 40 nga mutuuze eKawempe – Lugoba atunda ebyokunywa mu ppaaka ankadde y’alajanye n’ategeeza nti kyamutuseeko atwalibwa mu kkooti aba KCCA. Namayanja  mukiseera kino ali mu ddwaliro e Mulago agamba nti bwe baabadde […]

Abadde afera owa Mobile Money alula

Ali Mivule

July 17th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Solomon Muwanguzi bamukutte ng’afera Nadiah Nabateregga akola ku Mobile Money ne bamukuba ne bamutulisa emimwa n’ennyindo era poliisi y’e Kawempe Ttula egenze okumutaasa ku bantu ng’afuuwa musaayi tasulewo tasibe yalikumimwa gyabantu. Kitegerekesse nti  omuvubuuka ono agambye Nabateregga nga bw’ayagala okumusindikira 10,000/ ku […]

Buganda yakusoma embalirira yaayo

Ali Mivule

July 17th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Olunaku olwaleero olukiiko lwa Buganda  lwakuddamu okutuula nga nebikulu ebisubirwa kwekusoma kw’embalirira eyomwaka 2017\18. Omwaka gwebyensimbi oguwedde  olukiiko lwa Buganda lwayiisa embalirila ya buwumbi bwakuno  73,nga n’essira ekulu lyali ku byanjigiriza ,ebyobulimi nebyobulamu. Mungeri yemu wagenda kubawo  olutuula olwenjawulo okujjukira emirimu gyomugenzi […]

Aba Kaweesi babongeddeyo ku alimanda

Ali Mivule

July 13th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera Abantu 20 abavunaanibwa okutta eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi babongeddeyo ku alimanda e Luzira nga tebanamanya wa okunonyereza wekutuuse ku musango gwabwe. Kino kiddiridde balooya ba gavumenti okuyingira olunaku olwokubiri nga bediimye ekikosezza enyo emirimu gya kkooti. Omulamuzi […]

Massa awonye okutibwa

Ali Mivule

July 13th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Omusambi w’omupiira Geofrey Massa alula oluvanyuma lwa poliisi okuwerekereza emmotoka gyeyabaddemu n’omukazi amasasi. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Emilian Kayima atutegezezza nti poliisi y’abadde erawuna e Namboole n’esanga emmotoka eyabadde esimbiddwa ku mabbali eyabadde avuga n’agisimbula mu bwangu obwekitalo nebagyekengera.   […]

Emirimu gisanyaladde mu kkooti

Ali Mivule

July 12th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera Akediimo kabannamateeka ba gavumenti kasanyalazza emirimu mu kkooti ezenjawulo wano mu Kampala. Bannamateeka baasalwo okusigala ewaka beebake lwamusaala mutono nga ne nsalessale ow’ennaku 14  gwebaali baawa gavumenti okubatunulamu y’aweddeko. Bannamateeka bafuna wakati w’emitwalo 50 n’akakadde okusinziira ku ddaala ly’oliko. Kkooti ezeisinze okukosebwa […]

Bakansala batabukidde ssentebe waabwe

Ali Mivule

July 12th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssennabulya Omukubiriza w’olukiiko lwa disitulikiti ye Mukono Emmanuel Mbonnye atiisizza okukulemberamu ba kansala okujja obwesige mu ssentebe wa disitulikiti Andrew Ssenyonga Luzindana lwakulemererwa kussa mu nkola bisalibwawo kanso. Mbonnye agamba nti nga 29  May omwaka guno kanso yayisa ekiteeso ekyokuwera okusima omusenyu mu […]

Omukazi yeyambulidde kkooti

Ali Mivule

July 12th, 2017

No comments

Bya Isaac Otwii Waliwo omukazi ow’emyaka 36 agyemu engoye ku kkooti ye Lira nga awakanya eky’okuvunaana ab’oluganda lwe. Dorcas Akot y’anaabwe ensonyi mu maaso lwa kkooti kugaana kuyimbula bantu be 6 abavunanibwa omusango gw’okugezaako okutta. Abavunaanwa kuliko taatawe wamu ne mugandawe abaakwatibwa mu 2014 nebasindikibwa […]