Amawulire

ZZiwa neera bamuwnagudde mu NRM- Wanyoto y’akulira kati abakyala

Ali Mivule

October 31st, 2015

No comments

Agava mu kisaawe e Namboole galaga n’omukyala Lydia Wanyoto bw’awangudde obukulembeze by’abakyala mu kibiina kya NRM.

Ono yagenda okudda mu kifo kya Jacquline Mbabazi.

Wanyoto awangudde abalala okuli Nusura Tiperu, Margret Nantongo Zziwa n’abalala.

Mu malala , omubaka omukyala akikirira disitulikiti  ye Wakiso Rosemary Sseninde awangudde ekifo ky’amyuka Ssentebe w’ekibiina kya NRM mu masekati g’eggwanga.

Sseninde awangudde Juliet Najjuma ku kifo kino.

Mu balala abawangudde kuliko omubaka Jimmy Muhwezi akulira abazirwanako mu kibiina, ate nga Dr. Robert Lukaali Mwesigwa awangudde omugagga Hassan Basajjabalaba ku kifo ky’abamusiga ensimbi mu kibiina.

Mu balala,Oscar Omwonyi alondeddwa okukwatira ekibiina kya NRM bendera ku kifo k’omubaka w’abavubuka mu mambuka g’eggwanga.

Mu ngeri yeemu olukiiko lw’ekibiina olw’okutikko kutudde okuteesa ku nsonga z’ekibiina ezitali zimu.