Amawulire

Yintaneti bajizizaako

Yintaneti bajizizaako

Ivan Ssenabulya

February 10th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigia

Yintaneti nemikutu muyunga bantu, oba Social media bizddwako oluvanyuma lwokutijibwako nga 14 January mu biseera byokulonda.

Okuddako kwa yintaneti kukaksiddwa minisita omubeezi owamawulire nokulungamya egwanga Peter Ogwang nga yetondedde ne banna-Uganda bonn abakoseddwa mu muggalo gwa yintaneti guno.

Mu kusooka ababadde balina VPN bebabadde basobola okukozesa yintaneti.

Museveni we gwanga kinajjukirwa nti bweyali yakalondebwa ku kisanja ekyomukaaga, yalumiriza abemikutu gino obwa kyekubiira nokugotaanya gavumenti.

Kati Ogwang asabye abantu okukozesa obulungi, emikutu gino.

Emikutu okuli Facebook ne twitter gibadde gikozesebwa nnyo, mu kukunga obuwagizi bwakulira NUP Robert Kyagulanyi.