Amawulire

Yaffeesi ya Kaliisoliiso siyakwongezaayo Budde

Yaffeesi ya Kaliisoliiso siyakwongezaayo Budde

Ivan Ssenabulya

April 24th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Yaffeesi ya kaliisoliiso wa gavumenti egaanye okwongezayo obudde bannabyabufuzi na bakozi ba gavumenti mwe balina okwanjiza ebyobugaga byabwe.

Guno omwaka 2021 gwemwaka abakulembeze abawera emitwalo 30 mwebalina okwanjiza obugagga bwebalina gavumenti ebumanye, omulimo guno gwatandika nga 1st ogwokusatu era gwali gwakugwa nga 31st omwezi gwegumu.

Wabula kaliisoliiso wa gavt yasalawo okwongezayo obudde okutuusa olunaku lweggulo nga 23rd ogwokuna okusobozesa buli alina okukikola obutekwasa nti obudde tebwamalaWabula omwogezi wa wekitongole kino Munira Ali agamba nti webwazibidde olunaku abamu ku bakulembeze babadde tebanaba kwanja byabugagga byabwe.

Ono nti omulimo bbo bagufundikidde era abatasobodde kwetaba mu ntekateeka eno amaanya gabwe gakuwerezebwa mu kakiiko akalondoola ensonga eno aka Leadership Code Tribunal banyonyole ekyabakugira okutukiriza ebiragiro.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *