Amawulire

Yaaya avunaniddwa olw’okubba akaleega

Yaaya avunaniddwa olw’okubba akaleega

Ivan Ssenabulya

April 22nd, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Omukazi alumirizza Yaaya we, Ollvia Kyampara okubba engato ze peya 7, peya z’amasuuka 2, akaleega nebintu byomu nyumba ebirala.

Kiwanuka Harriet, nga mukozi mu Africa Development Bank ategezezza omulamuzi we daala erisooka ku City Hall Fatuma Nabirye nti ono yabba ebintu bye bweyali yatamabudde ebweru we’gwanga.

Kiwanuka agambye nti ebintu bino mwalimu n’empapula z’obuyigirize bwe, ebyapa byettaka 3.

Oludda oluwaabi lugambanti omuvunanwa omusango yaguzza March 2020 e Kamwokya mu Kampala.

Kati omulamuzi Fatuma Nabirye omusango agwongezezzayo, gwakuddamu okuwulirwa mu May womwaka guno.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *