Amawulire

Wuuno abaddenga aliisa omwana wa bba omusaayi

Wuuno abaddenga aliisa omwana wa bba omusaayi

Ivan Ssenabulya

June 11th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Poliisi e Mukono eriko omukazi gwegalidde, ateregekeseeko nga Annet Namata gwegalidde nga kigambibwa abaddenga awa omwana wa mujja we, emmere gyatabiseemu omusaayi gwe, ngaali mu nsonga.

Bba wa Namata Unusu Lungu, yeyadukidde ku poliisi oluvanyuma lwomwana okutabuka bweyatandise okusesema.

Kati omwana ono bwabuziddwa yatotodde ebibadde bimukolwako muka kitaawe.

Kati omuddumizi wa polisi mu district ye Mukono Rogers Sseguya, agambye nti batandise okunonyereza, ngensonga bazikwasiza ekkitongole kyabwe kikola ku nsonga z’amaka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *