Amawulire

URA ekutte 3 nga bakukusa engano

URA ekutte 3 nga bakukusa engano

Ivan Ssenabulya

May 15th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kusolooza omusolo mu ggwanga ki Uganda Revenue Authority kiriko eryatto lyekiboye nga litambulizibwako engano enkukuse eweza katoni 162.

Okusinzira kwayogerera ekitongole kino, Ian Rumanyika, bakutte abantu 3 ku beach ye Osieko Nambo kunsalo ya Uganda-Kenya nga bakukusa engano eya Pembe ekolebwa mu ggwanga erya Kenya.

Agambye nti aba URA bafuna bakalabalaba baabwe ne babateeka mu bitundu bye basuubira okuba nti abakukusa amagendo mwebayitira era kwekukwata ne bano.

Rumanyika atubuulidde nti abakwate kuliko Abdu Kalimu Wunyi nga abeera nyo ku Siamulala Hama beach e Namayingo ne batabanibe 2 Muzafar Malijiani ne Umar Kauta.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *