Amawulire

URA balemereddwa okukungaanya omusolo gwebalubirira

URA balemereddwa okukungaanya omusolo gwebalubirira

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ekitongole ekiwooza kyomusolo Uganda Revenue Authority baalemereddwa okutuuka ku kirubirirrwa kyabwe, ekyabaweebwa gavumenti mu mwaka gwebyensimbi 2020/2021.

Omulundi ogwokubiri, balamerereddwa okukitukako, ku mulundi guno n’obwesedde 2 n’obuwumbi 300.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire kamisona wekitongole ekiwooza kyomusolo John Musinguzi akaksizza nga bwebakunganyizza obwesedde 19 n’obuwmbi 200 nga wabaddewo okweyongera kwa 14.9% bwogerageranya nomwka gwebyensimbi 2019/20.

Okweyongera agambye nti kwabwesedde 2 n’ekitundu waddenga tebatuuse ku kyebalina okukungaanya.

Omusolo ogukunyanyizibwa munda mu gwanga gweyongeddeko nakawumbi 1 n’obukadde 400 ngawamu obwesedde 12 bwebwakunganyizbwa munda mu gwanga.

Okulemererwa okutuuka ku kirubirirwa kyomusolo gwebalina okukungaanya, baakitadde kungeri ssenyiga omukambwe gyayasanyalaze eirimu.

URA bagambye nti baafiriddwa omusolo gwa buwmbi 315 eza PAYE olwabakozi abangi bagaobwa ku mirimu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *