Amawulire

UPDF yegaanye okutta kanyama wa Bobi Wine

UPDF yegaanye okutta kanyama wa Bobi Wine

Ivan Ssenabulya

December 28th, 2020

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Amagye ge gwanga aga UPDF, gawakanyizza byebabalumiriza nti mmotoka yaabwe yeyatomedde Francis Senteza Kalibala, abadde amanyiddwa nga Frank nemutta abadde omukuumi wa Robert Kyagulanyi Ssentamu.

Omugenzi yoomu ku babadde bakola ku byobukuumi mu kibiina kya National Unity Platform ekya Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine.

Kyagulanyi yategezezza nti mmotoka ya military police yatomedde musajja we nemuyitako ku nkulungo e Busega mu Kampala bwebabadde baddusa munnamwulire Ashraf Kasirye okumujja mu ddwaliro e Masaka okumuleeta e Kampala.

Wabula omwogezi wamagye ge gwanga Brig Gen Flavia Byekwaso ayise ku twitter nagamba nti omugenzi yawanuse ku mmotoka eyabadde ewenyuka obuweewo nnamba UBF 850/Z.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *