Amawulire

UPDF eyogedde ku Basirikale abayiriddwa ewa Bobiwine

UPDF eyogedde ku Basirikale abayiriddwa ewa Bobiwine

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Eggye lye ggwanga erya UPDF litangaziza ku bakuuma ddembe abayiriddwa mu maka geyavuganya ku bwa pulezidenti mu kulonda okuwedde Robert Kyagulanyi.

Bano bagamba bakikola kulwabulungi bwe.

Ngesigadde olunaku lumu lwokka okutuuka ku kulayira kwa pulezidenti Museveni wabadewo okwebuuza lwaki obukuumi buyiriddwa e Magere Bobiwine gyasula.

Okusinzira kwa myuka omwogezi weggye lye ggwanga erya UPDF, Col. Deo Akiiki agambye nti bawa obukuumi abantu okusinzira ku buzito bwabwe kale nga bobiwine engeri gyeyali ku mbiranye ne pulezidenti babadde balina okumuwa obukuumi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *