Amawulire

UPC ssi ya NRM- Akena

Ali Mivule

November 16th, 2015

No comments

Akulira ekibiina kya UPC Jimmy Akena agamba nti ekibiina kye tekirina mukago gwonna gwekyakoze ne gavumenti.

Akena bw’abadde ayogerako eri bannamawulire agambye nti okusisinkana pulezidenti tekitegeeza kumwegattako nga basobola okwogera ku nsonga eziwera.

Ono agambye nti ekibiina kya UPC tekisobola kwegatta ku NRM okutuuka ng’olukiiko lw’ekibiina olufuzi lusazeewo ate nga terunnaba kukikola.

Wabula kkyo ekibinja ekiwakanya obukulembeze bwa Akena kigamba nti Akena ssi y’akulira UPC era buli ky’akola akikola ng’omuntu

Omwogezi wa’ekibinja kino Okello Lucima agamba UPC akyetongodde kale ng’abalowooza nti ya NRM bamala biseera

Eyali amyuka akulira ekibiina Joseph Bbosa asabye abantu okwesonyiwa ebikolebwa Akena