Amawulire
UNRA nvundu- Kagina
Akulira ekitongole ky’enguudo ekya UNRA Allen Kagina agamba nti ekitongole kino kisenseddwa nnyo enguzi era nga buli kimu gikolebwa gadibe ngalye.
Bw’abadde alabiseeko mu kakiiko akanonyereza ku mivuyo egiri mu kitongole ky’akulira , Kagina agambye nti emyezi omukaaga gy’amaze mu kitongole kino akizudde nti kkampuni ezisinga zaayita mu nkwaawa yadde nga zzo ziri ku mirimu zikola.
Kagina wabula agambye nti mu kadde kano kyebafuba okukolako kwekukyuusa mu bintu okulaba nti empereeza erongooka n’okutaasa ku nsimbi z’omuwi w’omusolo.