Amawulire

UNEB efulumizza tayimu ttebo z’ebigezo bya 2020

UNEB efulumizza tayimu ttebo z’ebigezo bya 2020

Ivan Ssenabulya

February 19th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwoga

Ekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda National Examinations Board kifulumizza timetable, ezigenda okugobererwa mu kukola ebigezo byakamalirizo ebyomwaka 2020.

Kuno kuliko ebigezo byakamalirizo ebya ebyekyomusanvu oba PLE, ebya S4 ebya Uganda Certificate of Education ne Uganda Advanced Certificate of Education ebya S6.

PLE waakutandika nga 30 akomekerezebwe enkeera waalwo nga 31 March 2021, ebya S4 byakutandika nga 1 March bigenede mu maaso okutukira ddala nga 6 April.

Bbyo ebigezo bya S6 byakuberawo wakati wennaku zomwezi 12 April ne 3 May 2021.

Okusinziira ku ssabawandiisi wa UNEB Dan Odongo agambye nti kino tekibangawo, kubenga ebigezo bizze kikerezi ebya 2020 bigenda kukolebwa mu 2021.

Kino kyava ku muggalo gwa ssenyiga omukambwe Covid-19, ogwakosa emirimu.

Kati James Turyatembe, akulira ebyebigezi mu UNEB, aliko byatunyonyodde.

Kati aba PLE bakutandika nokubala oba Mathematics, olweggulo bakole Social Studies nga 30 March.

Enkeera waalwo nga 31 bakukola Science ate olweggulo bakole Olungereza oba English.

Aba S6 bakutandika ne Histry nokubala, olweggulo bakole Economics, nga 12 April nebirala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *