Amawulire

Uganda y’enywezeza okwewala okulumbibwa ekirwadde kyé Ebola ekiri e Congo

Uganda y’enywezeza okwewala okulumbibwa ekirwadde kyé Ebola ekiri e Congo

Ivan Ssenabulya

February 8th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti okuyita mu minisitule eye byobulamu evudeyo ne tegeeza nga bweyongedde okunyweza obwerinde ku bitundu ebyokunsalo ebiriranye eggwanga lya Democratic Republic of Congo, oluvanyuma lwa mawulire okulaga nti ekirwadde kya Ebola kizeemu okubazinda mu bitundu ebyobuvanjuba

Kino kidiridde ngennaku zomwezi 3rd omwezi guno, omukyala okuva mu ssaza lya North Kivu okufa ekirwadde kino, oluvanyuma lwokulaga obubonero obulaga ekirwadde kino, oluvanyuma lwemwezi 3 ngábóbuyinza mu ggwanga eryo bakalangirira nga bwe balinye kunfeete olunabe lwekirwadde

Abantu 55 bebakirira e kaganga ku bantu 130 abakwatibwa ekirwadde kya Ebola mu bitundu bye ssaza lye Equateur omwaka oguwedde.

Kati omwogezi wa minisitule eye byobulamu wano mu ggwanga Emmanuel Ainebyona atubuulidde nti balibulindala okulaba nti ekirwadde tekituuka kuno