Amawulire

Uganda yakuganyulwa nyo mu mafuta

Uganda yakuganyulwa nyo mu mafuta

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2019

No comments

Bya Ben Jumbe, Omukulembeze w’eggwanga yoweri Museveni agamba nti uganda yakweyambisa ensimbi ezigenda okuva mu ky’obuggaga ky’amafuta okwekulakulanya mu bintu ebiwerako.

Bino yabyogedde ali mu lukungana lw’eby’obusubuzi mu gwanga lya Tanzania mu kibuga Dar-el-salaam

Eno gye yasinzidde nateegeza nga uganda bwegenda okweyambisa amagoba mu mafuta okuzimba enguuddo, amalwaliro, amasomero ne birala ebiyamba mu kulakulana.