Amawulire

Uganda ewanduse mu mpaka za AFCON

Uganda ewanduse mu mpaka za AFCON

Ivan Ssenabulya

March 29th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Uganda ewanduse mu mpaka za African cup of nation’s ezinabaawo omwaka ogujja mu ggwanga lya Cameroon.

Kino kidiridde tiimu ye ggwanga lya Malawi okukuba Uganda cranes goolo emu ku bwerere.

Goolo ya Malawi etebedwa omuzannyi Richard mbulu mu kitundu ekisooka bwebatyo ne besoga empaka za Africa omulundi ogwokusatu.

Goolo eno yatebedwa mu kitundu ekisooka, kati Malawi eyiseewo butereevu okwesoga empaka za Africa.

Uganda Cranes esabye okugenda mu bunya mu ddakiika eya 28 oluvanyuma lwomuteebi Emmanuel Arnold Okwi okukubibwa muntabwe wabula lifuli kino akigaanye

Uganda ebadde yetaaga kugwa maliri mu mupiira guno ate Malawi ebadde yetaaga kuwangula okusobola okuyitawo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *