Amawulire

Uganda ewagidde China kubye Honh Kong

Uganda ewagidde China kubye Honh Kong

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Gavumenti ya Uganda evuddeyo neraga weyimiridde ku nsonga zobwegugungo nendoliito ebiri mu gwnaga lya Hong Kong.

Banansi mu Hong Kong kinajjukirwa nti batandika okwekalakaasa mu June womwaka guno, ngabawakanya etteeka gavumenti lyeyali eyagala okuleeta, okuzangayo abateberzebw aokuzza emisango mu gwanga lya China bavunanirwe eyo.

Wabula omwezi oguwedde omukulembeze w egwanga Carrie Lam yajjayo ebbago lino, wabula abantu bagenda mu maaso okwegugunga, nebakyusa obwanga okubutunuza mu gavumenti ya China awamau etuula e Beijing.

Kati mu kiwandiiko ekivudde mu ministry eyensonga ze bweru w egwanga, Uganda egamba nti ewagira etteeka nekola eya ‘One Country, Two systems’ era netegeeza nti Hong Kong ddala kitundu ku China.

Mu kiwnadiiko kino ekyafulumye nga 3/10/2019 Uganda agamba nti ensonga za Hong Kong, era zikwatira ddala ku China, era nebalabula amwanga gakomye okweyingizanga mu nsonga zamawanga.

Kinajukirwa Bungereza abaali abafuzi bamatwale, bazaayo Hong Kong eri China mu mwaka gwa 1997.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *