Amawulire

Uganda erina wetuuse mu kulwanyisa Empisa yókukomola abakyala mu Mbugo

Uganda erina wetuuse mu kulwanyisa Empisa yókukomola abakyala mu Mbugo

Ivan Ssenabulya

February 10th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Uganda yeemu ku mawanga agali ku mwanjo, agasobodde okulwanyisa omuzze gwokukekejjula abawala nabakazi mu mbugo.

Uganda yeemu ku mawanga wansi we ddungu Sahara mu Africa, omubadde mufumbekedde ebikolwa bino, ngababikola berimbika mu byobuwangwa songa kimenya mateeka.

Bino byogeddwa minisita wabavubuka nabaana Florence Nakiwala Kiyingi mu kutongoza alipoota ekwata ku kukekejjeula abakyala mu mbugo, eyomwaka 2020 oluvnyuma lwokunonyereza okwakoleddwa aba UNICEF.

Okukendeera kw’ebikolwa bino akitadde ku tteeka lya FGM erya 2010, eryakifuula ekikolwa ekimenya amateeka mu Uganda.

Ekitundu kya kyobuvanjuba bwa Africa, awamu kibaddemu okukendeera kwebikolwa bino okuva ku 71.4% nga bwegwali mu 1995 kankano okudda ku 8.0% mu 2016.