Amawulire

Uganda egenda kutuusa ennyonyi kika kya Airbus A330

Uganda egenda kutuusa ennyonyi kika kya Airbus A330

Ivan Ssenabulya

December 22nd, 2020

No comments

File Photo:Ekisaawe kyenyonyi eky’Entebbe

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni amakya ga eero agenda kukwasibwa ennyonyi ye gwanga endala kika kya Airbus A330 nga yakatonnya ku kisaawe kye gwanga Entebbe ku ssaawa 5.

Okusinziira ku akulira ebyensimbi mu kampuni ye gwanga eya Uganda Airlines Roger Wamara, abantu batono abayitiddwa okuberawo ku mukolo guno ngemu kungeri yokwetangira ekirwadde kya ssenyiga omukambwe covid19.

Wamara agambye nti akulembera abagoba be nnyonyi za Uganda Captain Michael Etiang yagenda okukulembera olugendo lwokuleeta ennyonyi eno okujijja mu Bufalansa.

Chief Executive Wofiisa owa Uganda Airlines, Cornwell Muleya, agambye nti ennyonyi eno egenda kwongera ku kukula kwe gwanga mu byenfuna.

Ennyonyi endala kika kya Airbus yakutuuka kuno mu January wa 2021, ngeno yejja okusabaza abantu okuva Entebbe okugenda mu bibuga ebinene ku mutino gwensi yonna nga Dubai, London, Guangzhou, Mumbai nebiralala mu maserengeta nobugwanjuba bwa Africa.

Wetwogerera Uganda Airlines ebadde ebukira mu bibuga mu mawanga gobuvanjuba bwa Africa okuli Bujumbura, Nairobi, Dar es Salaam, Kilimanjaro, Juba, Mogadishu nekikyasembyeyo Kishansa.