Amawulire

Uganda airlines siyakuwangala-DP

Uganda airlines siyakuwangala-DP

Ivan Ssenabulya

August 27th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ab’e kibiina kye byobufuzi ki Democratic Party si bamativu nti  ennyonyi  y’eggwanga eya Uganda Airlines yakuwereza bulungi

Amakya ga leero Ennyonyi ya Uganda Airlines #UR202 ebuuse olubuuka lwayo olusoose okuva ku kisaawe ny’ennyonyi Entebe okwolekera e kisaawe kya Jommo Kenyatta International Airport e Nairobi mu Kenya.

Bwabadde ayogerako mu lukugaana lwa bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina  mu Kampala eyavuganyaako ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga lino Samuel Walter Lubega ategezeza nga okusinzira kuvulugu eyeyolekera mu kugula enyonyi, bannauganda si bamatiivu ne akampuni eno nti enekola bulungi emirimo.

Ono agamba abakungu ba gavumenti be balina okuba abasaale mu kukozesa enyonyi eno kiwe banna Uganda okugikiririzaamu .

Nga bikyali bityo ssentebbe w’olukiiko olutwala kampuni eno Uganda Airlines Perez Ahabwe asekeredde bonna ababusabussa enkola y’emirimu bwegenda okubeera nategeeza nti buli omu atekewo abiri buli kimu bazooka ku kitegeka bulungi.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *