Amawulire

Uganda airlines etandise okwetunda mu bannauganda

Uganda airlines etandise okwetunda mu bannauganda

Ivan Ssenabulya

September 1st, 2019

No comments

Bya Juliet Nalwoga, Prossy Kisakye, ne Benjamin Jumbe, Kampuni ya Uganda airlines etandise kawefube ow’okutunda enyonyi ya Uganda mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Kino wekigidde nga bannauganda bangi bagamba nti enyonyi ya Uganda wegidde nga gavumenti teyetegese bulungi kugidukanya

Omwogezi wa kampuni ya uganda airlines Jenifer Bamuturaki, agambye nti batandikidde mu bitundu ebyomumaseketi noluvanyuma bakutalaaga ebitundu byeggwanga ebyenjawulo bababuulire ku bukulu bwokuba ne kampuni yenyonyi

Wabula ono yewunyiza okuba nti bannauganda abali mu kitundu kyamasekati geggwanga tebalina kyebamanyi ku business ye nyonyi

Mungeri yemu ekibiina ky’eby’obufuzi ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ki Uganda people’s congress kisabye gavumenti okwegendereza obutadamu kukola ensobi ezavirako kampuni ye nyonyi eno okugwa.

Nga 27th august kampuni ya Uganda Airlines yadamu okukola era abasabaze yasooka kusabaza bagenda mu ggwanga lya Kenya

Nga ayogerako ne ddembe fm omwogezi wa UPC Michael Osinde agamba nti okuzaawo enyonyi y’eggwanga tekirina kukyamukiriza gavumenti kubanga singa tebekenenya ebyavirako eyasooka okugwa neeno yandiyita mu kubbo lyerimu.

Osinde awadde gavumenti amagezi okugobereranga ebikolebwa abakulu mu kampuni eno okwewala okiswalo ekyokubiri

Uganda Airlines yayimiriza emirimu gyayo mu mwaka gwa 2001 era ngebimu ku byagivirako okugwa, kyekya gavumenti okulemererwa okugikuuma eri okuvuganyizibwa okuva eri kampuni ye nyonyi eya Kenya Airways ne kampuni endala ezamawanga amalala.

Ate ye Omukubiriza w’olukiiko lweggwanga olukulu Rebecca Kadaga asabye bannauganda abawangalira emitala w’amayanja okutunda enyonyi ya Uganda eyazeemu okukola emirimu

Ku lwokusatu lwa sabiiti ewedde kampuni yenyonyi za Uganda yadamu okukola ensimbi nolugendo lwayo olwasooka mu ggwanga elya kenya.

Bino kadaga yabyogeredde mu lukungana olwomulundi ogwa 31 olwa bannauganda ababeera mu America.

Kadaga mungeri yemu yabasabye okweyambisa emikisa egiri e Uganda basobole okuteeka ensimbi mu bintu ebivaamu ensimbi.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *