Amawulire

Ttiyagaasi e Mukono

Ali Mivule

August 9th, 2013

No comments

 

teargas

Poliisi e Mukono ekubye omukka ogubalagala okugugumbulula abatunzi b’embaawo ababadde beekalakaasa

Bano ekibaggye mu mbeera ye poliisi gyebagamba nti ekyagaanye okukwata basajja baayo abatta munaabwe eyali ataasa omulala gwebaali basikamu ssente nga bamukutte atambuza embaawo

Swaibu Kalibbala yakubwa amasasi mu kifuba ne ku mutwe ku kyaalo kigombya bweyali ataasa muganda we Salim MPagi

Abasuubuzi bano bazibye ekkubo ly’omu industrial area ku luguudo oluva e mukono okudda e Kayunga

Akulembeddemu ekikwekweto ekibasasanyizza, Musa Nabenda agambye nti bagyeeyo omukka ogubalagala okutangira abasuubuzi bano okutataaganya emilimu gy’abalala

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *