Amawulire

Tonku wakuwanikibwa ku kalabba

Tonku wakuwanikibwa ku kalabba

Ali Mivule

November 12th, 2015

No comments

File Photo:Thomas Nkurungira eyasalilwa ogwokuufa ngaali mu Kooti

File Photo:Thomas Nkurungira eyasalilwa ogwokuufa ngaali mu Kooti

Kkooti ejulirwamu egaanye okusazamu ekibonerezo ky’okutibwa ekyaweebwa   Thomas Nkurungira amanyiddwa nga  Tonku eyatta muganzi we omulambo n’agusuula mu kinya kyakazambi.

Omulambo gwa Brenda Karamuzi gwazulibwa abafuuyira ebiwuka nga 30th.Jan.2010 mu zooni ye  Kijjwa e  Bukasa- Muyenga .

Abalamuzi abasatu nga bakulembeddwamu  Augustine Nshimye bakkiriziganyizza n’ebyasalibwawo omulamuzi wa kkooti enkulu  Albert Rugadya Atwooki nti ddala obujulizi bulaga nga bweyatta  muganzi we mu makage gyeyasemba okulabibwako.

Abalamuzi bategezezza nga Tonku okugamba aboluganda ba Karamuzi nti omugebnzi y’akoma okumulabako nga 22 Jan 2010 bwebaba bamunonya bagende mu ggwanika  n’eneyisaye ey’obukambwe ddala bwebulaga nti y’alina omukono mu kutta muganzi we.

Abalamuzi era bagenze mu maaso nebategeeza nti omusaayi gw’omugenzi, obwongo ssaako obwasasana wamu n’enkumbi  eyakozeebwa okumutta bwebimala okulumika Tonku kubanga n’omugenzi akawanga ke baasanga kamementuddwa.