Amawulire

Tewali ssente- Museveni eri abasomesa

Ali Mivule

September 16th, 2013

No comments

Teachers strike

Pulezidenti museveni ayanukudde abasomesa n’abategeeza nga bwewatali ssente.

Pulezidenti agambye nti abasomesa baddeyo okusomesa ng’ensonga zaabwe zakutunulwaamu omwaka ogujja

Bino pulezidenti abyogedde asisinkanye ababaka okuva mu kibiina kya NRM mu maka ge Entebbe.

Agambye nti batunuulidde bitongole biyinza kuvaamu nsimbi ng’amasanyalaze n’enguudo sso ssi ate birya ndye.

Abasomesa olunaku lwaleero lwebassizza mu nkola akeediimo kaabwe nga bangi baganye okulinnya mu bibiina.

Mu bitundu ebye njawulo nga kampala, Jinja, Tororo, Masaka, n’ebitundu ebirala, abasomesa bagaanye kusomesa okutuuka nga bongezeddwa emisaala ebitundu 20 ku kikumi,.

Yye ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta basomesa, James Tweheyo agamba nti basanyufu nti yadde gavumentie tiisizzatiisizza abasomesa bangi basobodde okulemera ku nsonga nebagaana okusomesa.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *