Amawulire

Tewali munnayuganda akoseddwa mu South Sudan

Ali Mivule

December 16th, 2013

No comments

 juba

Bannayuganda abali mu ggwanga lya Suoth Sudan tebaliiko buzibu bwonna.

Minista omubeezi akola ku nkolagana ya Uganda n’amawanga amalala, Asuman Kiyingi agamba nti ekitebe kyaabwe mu South sudan tekinnafuna mawulire gakwata ku muntu yenna kub eera ng’akoseddwa

Kiyingi agamba nti gavumenti yakusigala nga yetegereza embeera nga bw’etambula okulaba nti tewabaawo munnayuganda akosebwa

Bbo abasuubuzi bannayuganda abakolera mu ggwanga lya Sudan basabiddwa okwesamba ebifo omuli okulwanagana okusobola okwekuuma nga balamu.

Omubaka john ssimbwa nga ono atuula ku kakiiko akakola ku by’obusuubuzi mu palamenti  agambye nti eggwanga lino terinnatebenkera era ng’abaliwo balina okwegendereza

Bino webigyidde ng’abajaasi abawagira eyalia myuka omukulembeze w’eggwanga lino Riek Machar balwanagana n’amaggye ga gavumenti.