Amawulire

Teri mulwadde Mulala

Teri mulwadde Mulala

Ali Mivule

August 20th, 2013

No comments

Ebola scare

Ministry y’ebyobulamu ekakasizza nga bwewatannabaawo Muntu yenna mupya akwatibwa ekirwadde ekyefananyirizaako Ebola ekyalumba ab’omu district ye Agago.

Ekiwandiiko ekivudde mu ministry eno kiraga nti omuntu alina obulwadde buno akyaali omu ng’ajjanjabibwa mu ddwaliro lye Kalongo

Abantu abalala omukaaga abaali baweebwa ebitanda nao basiibuddwa oluvanyuma lw’okubekebejja okumala ennaku mukaaga nga tebalina kirwadde kino

Katia ba ministry banoonyereza ku bantu 3 abasooka okufa nga kiteberezebwa nti baafa kirwadde kino

Ekirwadde kino kiva ku nkwa eba ekirina okuluma ku Muntu olwo obulwadde buno nebubuna