Amawulire

teri kweyongeza musaala- Kkooti eri ababaka

Ali Mivule

November 23rd, 2015

No comments

KKooti etaputa Ssemateeka esazeewo nti ababaka ba palamenti tebalina buyinza kweyongeza musaala

Abalamuzi 5 nga bakulembeddwamu amyuka ssabalamuzi w’eggwanga  Stephen Kavuma basazewo nti gavumenti y’erina okuleeta ekiteeso ky’okwongeza ababaka bano omusaala sso ssi bbo kweyongeza buli webagalidde.

Abalamuzi bano era balagidde gavumenti esasule Wilson Mwesigye eyawaaba omusango guno mu 2011 oluvanyuma lw’ababaka okweyongeza omusaala.

Twogeddeko ne munnamateeka we  Fred Mukasa Lugalambi n’ategeeza nga kino kiyambye okukoma ku babaka okweyongeza omusaala buli webaagalidde