Amawulire

Taata atemyetemye bawala be 2, neyetuga

Taata atemyetemye bawala be 2, neyetuga

Ivan Ssenabulya

March 7th, 2021

No comments

Bya Opio Sam Caleb

Abatuuze ku kyalo Kulingo mu Southern division, distulikiti ye Kamuli bakeredde mu ntiisa, bwezudde musajja mukulu owemyaka 60 nga yesse.

Wabula kigambibw anti tanaba kwejja mu budde yasoose, kutematema bawala be babiri nabatta.

Joseph Ngobi, kigambibw anti yayise muwala we ategerekeseeko erya Joy abadde atemera mu myaka 20 ajje okuva ku ttendekero gyabadde asomera.

Yamuyise ngamusubizza nti agenda kumuwa mukisa, mu nsisinlkano eyabakika wabula olwatuseea awaka namutematema ejambiya ne muwala we omulala, nabatta.

Omu ku baana bawaka, yasobodde okwemulula nakuba enduulu eyaleese balirwana okudukirira, wabula oluvanyuma naye yadduse, abaana ababadde bayitayita basanze yetuze, ngoulambo gwe gulengejera ku muti gwomuyembe.

Ssentebbe we kyalo, Moses Kaamu agambye nti bawulidde enduulu nebaddukirira, abaana batusirizza mu ddwaliro ekkulu e Kamuli gyebabajje okubongerayo mu ddwaliro eryobwanayini Franks clinic gyebasirizza ogwenkomerero.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Michael Kasadha akaksizza ettmu lino wabula nategeeza nti okunonyereza kutandise.