Amawulire

Supreme Mufti agamba okulondesa abe’byalo kijja kukendeeza obutemu

Ivan Ssenabulya

June 15th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, Magembe Sabiiti, Malikih Fahad ne Sadat Mbogo

File Photo:Ndirangwa eyalondewa ku bwa Mufti

Kibuli Supreme Mufti Sireman Ndirangwa asabye wabeewo obumu, mu mbeera egenda mu maaso etali ya butebenkevu okuwamba nokutt abantu.

Bwabadde abuliira abaasiraamu Sheik Ndirangwa agambye nti kino kyekijja okuyamba.

Wano era asabye gavumentyi nakakiiko kebyokulonda ku mulundi guno, okulondesa ba ssentebbe bebyalo nga kyakuyamba.

Eno okusaala kwetabiddwamu omulangira Kassim Nakibinge ne lord mayor wa Kampala Erias Lukwago.

Ate agavudde mu mizikiti ebyenjawulo mu gwanga, abasiraamu mu bitundu bye Namawojolo begasse nebasalira wamu Eid nga’kabonero akalaga obumu nekigendererwa okumalawo ebiwayi ebibaddewo.

Bano bakunganidde mu kisaawe kya Namawojolo ngo’kusaala
kukulembeddwa Imaam wa Masjid Dawa Ahamed Munil.

Bano basinzidde mu kusala kuno nebasaba abasiraamu obutaggwamu mannyi ku mbeera eri mu gwanga eyobutali butebenkevu.

Mungeri yeemu basabye omukulembeze we’gwanga okuddamu yetegereze ku kiragiro kyeyawadde abakwatibwa ku misango gyobutemu obutabawa kweyimirirwa.

Yye ssentebe wa Mukono Central Division Jamil Manisul Kakembo asabye abantu abagenda mu maaso no’kuwamba, okubuzzawo no’kutta banaabwe bakikomye mbagirawo.

Kakembo abasabye bekube mu mitima naddala ku lunnaku luno olwa eid, ngagambye nti embeera eri mu gwanga yabunkenke ekitenkanika.

Bino abyogeredde ku muzikiti omukulu e Mukono bwabadde yetabye mu kusaala Eid olwaleero.

Ate abavubuka balabuddwa ku bikolwa bya zzaala nokwetaba mu kunywa ebiragalalagala.

Sheik Twaha Bugembe omuwandiisi wa kooti ya ya Sharia e Masaka, agambye nti emisdango gyebasinga okufuna mu kooti yaabwe, gyegyo era egyekuusa ku basiraamu okulagajjalira abaana baabwe, kubanga ssente bazimalira mu zzaala.

Alabudde nti ebikolwa byonna ebigenda mu maaso ebyobumenyi bwamateeka byetololera ku njaga nebiralala abavubuka byebakozesa.

Ate abayisiraamu obubaka bubadde bwebumu, okwewala enjawukana.

Imam Yahamidu Wamala okuva e Ntungamo agambye nti ebigenda mu maaso okuwamba nokutta abantu abasiraamu bebasinga okubeera mu kabi, nga batekeddwa okubeera obumu nokugenda mu maaso okusabira egwanga.

Ate Mityana abayisiramu basabidwa okusigalanga beyisa obulungi nga bwebade mwezi omutukuvu.

Bino byogedwa atwala obuyisiramu mu district y’e Mityana sheik Ali kasaliko ssempijja bwabade abulira ku Mazigidi Jamia.

Ate yo e Mubende, bwabadde akulembeddemu okusaala iddi ku muzigiti gwa  Mubende town mosque District Kahadi wa Mubende ,Sheik Sensuku asabye government okukola okunonyereza ku buzzi bwe misango mu bwenkanya kisobole okumalawo abantu abasibibwa obwerere nga tebaza misango.