Amawulire

Ssentebe wa Disitulikiti yé Wakiso Lwanga Bwanika alayiziddwa

Ssentebe wa Disitulikiti yé Wakiso Lwanga Bwanika alayiziddwa

Ivan Ssenabulya

May 19th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye ne Magembe Ssabiiti,

Ssentebe wa district ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika alayizidwa mumizira emingi okukulembera district ye Wakiso ekisanja ekyokusatu nga ssentebe wa district eno.

Omulamuzi wa kooti ye Wakiso Eseza Nakadaama yalayiziza ssentebe Bwanika era olumaze okukuba ebirayiro, ssentebe Bwanika agambye nti nga district basobodde okugezaako okukola enguudo za kolasi kubusente obutono bwebafuna wadde nga bakyalina enfufu nyingi nasaba bekikwatako okubalowozaako era nategeeza nga bwebakyabanja okubawa ekibuga.

Mungeri yeemu Bwanika agambye nti bakyalina obuzibu bunene okutekesa munkola Master physical Plan gyebakola ngalowooza nti bayinza okubeera nga bakotogera bussa singa tebagiteeka munkola.

Omubaka wa president atuula mu district ye Wakiso Justine Mbabazi kumukolo gunno asabye ba kansala abalayidde nga bwebalina ebanja okukolera abantu ababalonda.

Ate Ssentebe wa disitulikiti ye Mubende omulonde Michael Ntambi wamu ne bakansala abakikirira amagombolola balayiziddwa okutandika okukakalabya emirimu gyabwe nga bano essira bakusinga kulissa kulwanyisa ekibba ttaka n’okutumbula eby’obulamu.

Omukolo gutandiise nabadde  ssentebe wadisitulikiti eno Francis Kibuuka Amooti okuwayo offiisi eri akulira abakozi ba disitulikiti Nakamate Lillian era nga Kibuuka asabye amudidde bigere okwewala okubulankanya ensimbi za government .

Ssentebe omulonde Michael Ntambi  awamu ne bakansala  olumaze okulayira nebawera nga bwebagenda okulwanyisa ekibba ttaka n’okutumbula eby’obulamu naddala byalo okusobola okutaasa abakyala abafa nga bazaala.