Amawulire

Ssentebbe we’Mpigi Martin Ssejjemba alemereddwa okulonda olukiiko olufuzi

Ssentebbe we’Mpigi Martin Ssejjemba alemereddwa okulonda olukiiko olufuzi

Ivan Ssenabulya

May 19th, 2021

No comments

Bya Sadat Mbogo

Abakiise mu lukiiko lwa district y’e Mpigi abakalayira balemereddwa, okukkanya ku ani alina okubeera omumyuka wa ssentebe wa district eno.

Kino kivudde ku ssentebe omuggya Musaayimuto Martine Ssejjemba Ssendege okwanjula kansala omukyala owa Kayabwe T/C Hajjat Aisha Nakirijja ng’agenda okumumyuka, abakiise nebakiwakanya.

Abakiise kino bakiwakanyizza nga bagamba ssentebe ava mu Mawokota South n’omumyuka wa sipiika, ekibadde kyoleka okuboola ebitundu ebiralala.

Kati bagala nti nebitundue ebiralala birowozebweko nnyo, nga Mawokota North.

Kino kireeseewo okukubagana empawa era gyebiggweredde ng’omulamuzi abadde mu mitambo gyokulayira, Omulamuzi Ruth Nabaasa akuttemu ebibye n’ayabulira ekifo, era ssentebe gyebigweredde nga talaze lukiiko lwe olufuzi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *