Amawulire

Ssentebbe we kyalo bamutanzizza ente 5 lwa bw’enzi

Ssentebbe we kyalo bamutanzizza ente 5 lwa bw’enzi

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2019

No comments

Bya BILL OKETCH ne SANTO OJOK

Ssentebbe we kyalo bamuwadde ekibonerezo kyakuliwa engasi yante 5 nembuzi 5, olwokwenda ku mukomusajja.

Bino bibadde mu gombolola ye Chegere mu district ye Kwania.

Omuvunanwa ye Epok Tonny Opio nga ye ssentebbe we kyalo Corner Odeo ekisangibwa mu muluka gwe Aboko, nga kyadiridde okukiriza nti ddala abadde atetera ne mukomusajja Barbra Apio okuviira ddala mu mwezi gomusanvu omwaka guno.

Omukazi ono mukyala wa Alex Okwir omukuumi mu kitongole kyobwananyini, ngamulinamu nabaana.

Kati Moses Ogweng akulira omuluka gwe Chegere yatabaganayizza abantu bano, era ssentebbe bamuwadde ennaku 14 zokka, okusasula ebintu ebimusaliddwa.

Wabula kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2007, Uganda yali yajjawo etteeka lyobwenzi, oluvanyuma lwabanatu ssekinoomu okuliwakanya nti lyali liboola abakazi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *