Amawulire

Ssempijja yenyonyoddeko kubye Nzige

Ssempijja yenyonyoddeko kubye Nzige

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2020

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Minister webyobulimi, obulunzi n’obuvubi Vincent Bamulangaki Ssempijja awadde banna Uganda amagezi okubeera obulindaala ku nzige ezaalumbye eggwanga.

Ono alabudde nti abantu tebasaanye kukitwala ngekyolubalaato.

Ssempijja asinzidde mu maka ge e Lukaya mu district ye Kalungu mu lukungaana lwabannamawulire batuzizza, nakola okulabula kuno.

Wano era agambye nti omulimu munene ddala, songa ne ssente zibekubya mpi era ezakabaweebw atezimala.

Gavumenti yakasasanya ensimbi ezisoba mu buwmbi 20 mu bikwekweto byokulwnayisa enzige.

Mungeri yeemu minisita awoererzza amagye ge gwanga, ngamaba nti ssi bebali emabagea wokwokya ebibira, nti balwanyisa enzige.

Ono agambye nti baafuna abantu bangi, nga banakyewa ababayambako kalenga okusomozebwa kuli nti walaiwo abatandise okukola ebyabwe.

Wabula omusumba we Masaka eyawummula, John Baptist Kaggwa asabye abantu okusanira egwanga, kubanga nezige kabonero kabi.