Amawulire

Ssemateeka was basiraamu wa kukyuusibwa

Ssemateeka was basiraamu wa kukyuusibwa

Ali Mivule

August 27th, 2014

No comments

Abasiramu nga basaala

Abasiramu nga basaala

Abakulembeze b’abayisiramu batandise kawefube owokukyusa mu Ssemateeka afuga ediini y’obuyisiramu.

Kino kidiridde akakiiko akakulira Prof, Tasis Kabwegyere akatekebwawo okutawuluza enkayana mu basiramu okulagira okukola ssemateeka omujja okulambika ediini y’obusiramu.

Amyuka supreme Mufti we Kibuli Sheikh Muhamound Kibaate agambye nti ebiwali byombi ekye Kibuli ne Old Kampala byakuleeta abantu kikumi kikumi, okukola ssemateeka omujja.

Kibaate agambye nti abantu bano bakugenda mu lusirika n’omukulembeze w’eggwanga okuva nga 10 okutuuka nga 12 omwezi ogujja okusobaol aokukola ssemateeka omujja.

Mungeri yemu abasiramu batandise kawefube w’okunonya wamu n’okutendeka abasomesa b’endinni okwetolola eggwanga lyona.

Olukiiko lwa ba Kadi olutudde olunaku olwalero wali ku muzikiti e Kibuli, ba Kadi 60 basazewo okutandika okusomesa ba imamu, basobole okufuuka ba sheikh.

Omwogezi w’ekiwayi kye Kibuli shikeh Kasule Ndirangwa agambye nti obusiramu buzze bufirwa abasomesa b’ediini abawerako, kale ngabalina okudizibwawo.

Ndirangwa agambye nti  bano bakutendekebwa okumala emyaka 2 okusobala okumanya endiini y’obuyisiramu.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *