Amawulire

Ssemaka y’efumise bwafunye obutakanya n’omukazi

Ssemaka y’efumise bwafunye obutakanya n’omukazi

Ivan Ssenabulya

July 12th, 2019

No comments

Bya Sadat Mbogo

Entiisa ebuutikidde abatuuze mu kabuga k’e Kayabwe ssemaka bweyeefumise ekiso neyeggya mu bulamu bw’ensi eno oluvannyuma lw’okufuna obutakkanya ne mukyalawe.

Sam Mutumba, 34 kigambibwa asoose kufuna butakkanya ne mukyala we ali olubuto era kitegeerekese nti okuviira ddala mu kiro ekikeesezza olwaleero, bazze bayomba obutasalako.

Bw’amusambyesambye mu ttuntu lya leero n’atandika okuvaamu omusaayi mu kamwa n’ebitundu ebyekyama, mu kutya okungi Mutumba adduse n’agula eddagala erifuuyira omuddo n’alyekatankira ekikopo kiramba ng’ayagala afe.

Wabula bweriganye okumuttirawo, afunye ekiso akifumite mukyalawe era omukyala akubye enduulu ereese abazirakisa abamutaasizza ku bba.

Mu mbeera y’okutaasa omukyala, omwami abase ekiso n’akyefumita mu bulago n’akalirawo era abatuuze batubuulidde nti yandibanga atidde ku musiba mu kkomera olw’embeera omukyala gy’abaddemu n’asalawo yeggye mu budde.

Police omulambo mu kaseera kano etuuse eguggyewo era atwala ebyokubuuliriza ku misango ku police e Kayabwe Eric Chandia atubuulidde nti omulambo gutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Gombe okwongera okwekebejjebwa nga okunonyereza bwekugenda mu maaso.