Amawulire

Ssemadduuka wa Forest Mall ne Shoprite Lugogo zigaddwa

Ssemadduuka wa Forest Mall ne Shoprite Lugogo zigaddwa

Ivan Ssenabulya

July 14th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Amyuka omubaka wa gavumenti e Kampala, atwala ekitundu kye Nakawa Herbert Anderson Burora alagide zzi ssemadduuka, Forest Mall ne Shoprite e Lugogo, ziggalwe.

Mu bbaluwa gyeyawandiise olunnaku lweggulo nga 13 July eri abaddukanya bizineensi zino, Burora agambye nti okutandika nolwaleero nga 14 July batekeddwa okuggalawo.

Burora alumiriza abaddukanya ssemadduuka zino okujemera ebiragiro byomukulembeze, ku ssenyiga omukambwe nebyajjira mu muggalo ogwe nnaku 42.

Ono agambye nti nga 6 July bayogerzeganya nabadukanya ebifo bino ku masimu, wabula tewabadeewo njawulo okutereeza ebyokwerinda nenkola ezokwetangira ssenyiga omukambwe.

Alagidde nti baterewo abakozi baabwe entambula okubazza awaka, ngagambye nti abaddukanya amalwlairo namadduuka geddala bokka bebatekeddwa okusigala nga bakola.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *