Amawulire

Sseduvuto agasimbaganye n’omulamuzi

Sseduvuto agasimbaganye n’omulamuzi

Ivan Ssenabulya

September 25th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah, Omutuuze w’e Kosovo mu Gomboloola ye Rubaga Kigongo Sulaiman asimbiddwa mu kkooti enkulu wano mu Kampala nasomebwa emisango egy’obuliisa maanyi.

Kigongo ow’emyak 31 asomeddwa emisango mu maaso g’omulamuzi Jane Frances Abodo wabula n’agyegaana.

Wabula eky’okwegaana emisango tekirobedde mulamuzi kumulagira kudda mu kkomera e Luzira okutuusa September 30th lwa nadizibwa atandike okuwerenemba n’emisango gy’obuliisa maanyi.

Oludda oluwaabi lugamba nti nga April 11th 2019 ku kyaalo Kosovo e Rubaga wano mu Kampala, Kigongo yakaka omukyala atayatukirizidwa maanya akaboozi.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *