Amawulire

Ssebuufu asuze Luzira

Ssebuufu asuze Luzira

Ali Mivule

October 28th, 2015

No comments

File Photo: Sebuufu wa Pine mu kooti

File Photo: Sebuufu wa Pine mu kooti

Omutunzi w’emotoka mu Kibuga Kampala Mohammed Ssebuufu asindikiddwa e Luzira lwakutta mukyala .

Ssebuufu avunaanibwa wamu Godfrey Kayiza omukuumi, , Philip Mirambe munansi we Congo, ne Stephen Lwanga nga bano kigambibwa nti batta Donah Katushabe.

Omulamuzi omukulu mu kkooti ya Buganda road Flavia Nabakooza abavunaanibwa y’abasomedde emisango gy’ettemu n’okubba essimu y’omugenzi nga bakozesa ejjambiya n’emiggo.

Abakulu bano emisango bagizza nga 21st October 2015 wali webatundira emmotoka webayita ku Lumumba.

Omulamuzi agambye nti okunonyereza ku musango guno gukyagenda mu maaso ng’ono wakuddizibwa mu kkooti nga 12 omwezi ogujja.

Sebuufu emotoka gyeyaguza omugenzi yali ya kika kya Premio gyeyagula obukadde 19 n’asigala ng’abanjibwa obukadde 9 obwamuttisizza