Amawulire

Ssabawaabi wa gavt ayingidde mugwa Bobi Wine okulimba emyaka

Ssabawaabi wa gavt ayingidde mugwa Bobi Wine okulimba emyaka

Ivan Ssenabulya

September 16th, 2020

No comments

Bya Ruth Anderah,

Ssabawaabi wa gavumenti akkirizibwa okuwozesa omubaka wa kyadondo east mu palament era nga ye senkagale wekibiina ki NUP,Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, mu musango gwókulimba emyaka gye.

DPP ategeezeza nga okusinzira ku ssemateeka enyingo eya 120 aweebwa obuyinza okutwala omusango guno ogwaloopya akakiiko ke byókulonda mu disitulikiti eyé Wakiso.

Kati omulamuzi wa kkooti e Wakiso Esther Nakadama alagidde Kyagulanyi yeyanjule mu kkooti eno ngénnaku zómwezi September 23rd 2020 atandike okuwulira omusango gwe.

Bobi Wine wakudamu ku bigambibwa nti yawa amawulire agóbulimba ku bikwata ku myaka gye eri abakulu abavunanyizibwa ku kugaba passport bweyateegeza nti yazaalibwa mu 1982 songa empapulaze ez’obuyigirize ziraga nti yazaalibwa mu 1980

Munnamateeka wómu Kampala Male Mabirizi agamba nti nga munnauganda akwatibwako ensonga kkooti erina okusazaamu ebya Kyagulanyi okwesimbawo ku ntebe eyómukulembeze weggwanga mu kulonda okujja ate agaanibwe okwetaba mu byóbufuzi okumala ebbanga lya myaka 7 singa kizuulibwa nti ddala mulimba.