Amawulire

Ssabassajja asiimiddwa olwa kawefube gwatadde mu kukubiriza abantu okugaba omusaayi

Ssabassajja asiimiddwa olwa kawefube gwatadde mu kukubiriza abantu okugaba omusaayi

Ivan Ssenabulya

June 2nd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole ekivunanyizibwa okutereka omusaayi mu Uganda ekya Uganda Blood Transfusion Services nga kiri wamu n’ekiddukirize ekya Uganda Red Cross Society, basiimye ssabasajja kabaka n’ejinja ery’omuwendo olw’omulimu gw’akoze ogw’okuwagira enteekateeka z’okugaba omusaayi mu Buganda n’okukunga abantube nga ayita mu kitongole kye ekya Kabaka Foundation.

Ejinja lino likwasiddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku mukolo ogubadde wano ku mbuga enkulu eya Bulange e Mengo, era nga enkolagana eno wakati wa Kabaka Foundation, Uganda Blood Transfusion Services ne Uganda Red Cross Society okukunganya omusaayi mu bwakabaka yatandika mu 2018.

Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti omutanda eby’obulamu bimusula ku mutima era kya kyamuwaliriza n’okutandikawo Kabaka Foundation, bwatyo akunze abantu ba kabaka okujjumbira enteekateeka zonna ez’okugaba omusaayi okutaasa abo abagwetaaga.

Ssenkulu wa Uganda Blood Transfusion Services, Dr Dorothy Byabazaire, agambye nti embeera ya COVID 19 ebatawanyiza nnyo mu by’okukunganya omusaayi kyokka obwakabaka bubayambye nnyo okubazza engulu mu mulimu guno.