Amawulire

Ssabasajja taweebwanga ku Butwa-Katikiro

Ssabasajja taweebwanga ku Butwa-Katikiro

Ivan Ssenabulya

April 16th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Obwakabaka bwa Buganda busambaze engambo ezibadde ziyitingana ku mikutu egyómutimbagano nti ssabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 yaweebwa obutwa bwe bumutawanya.

Embeera Kabaka gyali yamenya emitima gya baddu na bazaanabe bweyalabikako ku mazaalibwage nga munafu nyo

Mu kwogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga awakanyiza engambo ezogerwa ku mutanda

Mayiga abuulidde obuganda nti kabaka atawanyizibwa alajje amuvirako okulemererwa okusa obulungi wabula agamba nti embeera yobulamubwe elondolobwa abakugu.

Mayiga okwogera bino nga ne bannalinnya kyebagye bagumye obuganda nti Nnamunswa mulwadde naye ajja kuba bulungi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *