Amawulire

Ssabasajja Kabaka asiimiddwa olw’okukolera enyo Obuganda.

Ivan Ssenabulya

April 13th, 2018

No comments

Bya Samuel ssebuliba.

Wetwogerera nga emikolo egy’amazalibwa ga ssabasajja kabaka gigenda mu maaso wali e Masaka, era nga akadde konna omutanda wakwogerako eri  obuganda.

Bwabadde ayimba ekitambiro kya misa ku mukolo guno, omusumba w’esaza  lye Masaka John Baptist Kaggwa  agambye nti Ssabasajja kabaka okuva lweyatuula ku Namulondo abadde kirabo kinene eri obuganda, era nga akoze binene mu Buganda wano.

Ono anokodeyo ebituukidwako nga okulwanyisa obwavu, okulwanyisa akawuka ka mukenenya, obulwadde bwekikulukuto ko nebirara, nagamba nti gano gonna gabade maanyi ga mutanda.

Mungeri yeemu  omusumba ajukizza abantu beeno okubeera abagumikirza mu mbeera yonna gyebayimu , naddala mu kissera kino eky’amazukira.

Gyo emikolo gikyagenda mu maaso, era gisubirwa okuggwa ku saawa munaana.