Amawulire

Ssabasajja asasidde kkeleziya olwokufiirwa Bishop Kaggwa

Ssabasajja asasidde kkeleziya olwokufiirwa Bishop Kaggwa

Ivan Ssenabulya

January 24th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Empologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 atenderezeza emirimo amakula omusumba we Masaka eyawummula, John Baptist Kaggwa.

Omusumba Kaggwa agalamiziddwa mu seminary e Bukalasa mu disitulikiti ye Kalungu, ngobukaba bwomutanda bumusomeddwa Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.

Kululwe Katikiro Mayiga alaze obuvumu obubadde
bukozesebwa omusumba KAGGWA obutabademu kyekubira, wakati mu kwogerera abanyigirizibwa nokulyowa emyoyo.

Omukolo guno omubaka wa Kalungu West, Joseph Gonzaga Ssewungu ayambilidde minisita owensonga zobwa pulezidenti Ester Mbayo, namusaba yesonyiwe kkelezia.

Kino kyadirirdde Mabyo, wamu neba minisita abalala mu gavumenti eya wakati okulumiriza nti kerezia nobwakakaba bwa Buganda bebaviriddeko NRM okuwangulwa mu kalulu, mu kitundu kya Buganda.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *